Exodus 5:5-9

5 aFalaawo n’ayongera n’agamba nti, “Kale, mulabe abantu nga bwe beeyongedde obungi mu ggwanga ate mmwe mubaziyiza kukola.”

6Ku lunaku olwo lwennyini Falaawo n’alagira abagabi b’emirimu ne bannampala b’abantu
Abagabi b’emirimu baali Bamisiri, ate nga bannampala b’abantu Bayisirayiri.
nti,
7“Mulekeraawo okuwanga abantu essubi ery’okukozesa mu kubumba amatoffaali; mubaleke bagende beenoonyezenga essubi lyabwe.
Amatoffaali gakazibwanga mu musana, essubi nga likozesebwa okwongera okugagumya. Mu biseera ebyamakungula, ebitundu ebya waggulu empeke kwe zibeera bye byatemebwanga, ebikolo ebya wansi ne birekebwa mu nnimiro. Ebikolo ebyo ebya wansi, ebyasigalanga mu nnimiro, Falaawo bye yabagamba bateme okubumba amatoffaali.
8Naye mubalagire babumbenga obungi bw’amatoffaali bwe bumu nga ge babadde babumba; temukendeezanga ku muwendo ogwabasalirwa. Bagayaavu; era kyebava bankaabirira nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’ 9Abasajja mubongereko ku mirimu gye mubasalira, bakole nnyo, balyoke baleme na kufa ku ebyo bye babalimbalimba.”

Copyright information for LugEEEE